Search form

Okuva 11

Musa alangirira okufa kw'ebibereberye mu Misiri

1Mukama n'agamba Musa nti, “Njakuleetera Falaawo ne Misiri ekibonyoobonyo kimu kyokka, n'oluvannyuma alibaleka ne mugenda; bw'alibaleka, alibagobera ddala okuva mu nsi muno.- 2Kaakano gamba abantu, buli musajja asabe muliraanwa we, era na buli mukazi asabe muliraanwa we, ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.”- 3Mukama n'awa Abaisiraeri okwagalibwa Abamisiri. Naddala Musa, ate ye yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri; mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu bonna.-

4Musa n'agamba Falaawo nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Awo nga mu ttumbi ndiyita wakati mu Misiri;- 5n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuusa ku mubereberye w'omuzaana asa ku lubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. 6Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo era okutaliddamu kubaawo nga kuno nate.- 7Naye mu baana ba Isiraeri tewaliba wadde embwa eboggolera omu kubo, wadde ensolo zaabwe; mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri n'Abaisiraeri.’- 8Era abaddu bo bano bonna balijja gye ndi, ne banvuunamira nga boogera nti, ‘Genda n'abantu bo bonna abakugoberera,’ era oluvannyuma ndigenda.” Musa n'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.

9Mukama n'agamba Musa nti, “Falaawo talibawulira; eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.”- 10Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo; Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka baana ba Isiraeri kuva mu nsi ye.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index