Search form

Okuva 19

Abaana ba Isiraeri bafuuka eggwanga lya Katonda ku lusozi Sinaayi

(19:1—40:38)

Katonda ayogera ne Musa ku lusozi Sinaayi

1Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'okusatu, nga abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi 2Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.- 3Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri- 4nti, ‘Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnabasitulira mmwe ku biwaawaatiro by'empungu, era bwe nnabaleeta gye ndi.- 5Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange,- 6nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu.’ Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.”- 7Musa n'ajja n'ayita abakadde b'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. 8Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti, “Byonna Mukama bye yayogera tulibikola.” Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.- 9Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, njija gy'oli mu kire ekikutte, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna.” Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.- 10Mukama n'agamba Musa nti, “Genda eri abantu, obatukuze leero ne enkya, era bayoze engoye zaabwe,- 11beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu; kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. 12Naawe abantu olibateekera ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti, ‘Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo; buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa.- 13Ensolo yonna oba omuntu yenna alikoma ku lusozi, alittibwa ng'akubibwa amayinja oba okulasibwa n'akasaale; omuntu yenna aleme okumukomako.’ Eŋŋombe bw'erivuga ennyo olwo abantu ne balyoka basemberera olusozi.” 14Musa n'akka ng'ava ku lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe. 15N'agamba abantu nti, “Mweteekereteekere olunaku olw'okusatu; temusemberera mukazi.”- 16Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekikutte ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.- 17Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.- 18Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro; omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.- 19Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.- 20Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi, Musa n'alinnya. 21Mukama n'agamba Musa nti, “Serengeta, olagire abantu baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okuzikirira.- 22Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okubabonereza.”- 23Musa n'agamba Mukama nti, “Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi; kubanga watulagira, ng'oyogera nti, ‘Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.’ ” 24Mukama n'amugamba nti, “Genda, oserengete; naawe olirinnya wamu ne Alooni; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okubabonereza.” 25Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index