Search form

Okuva 25

Ebiragiro ku Weema ey'okusisinkanirangamu (25:1—31:17)

1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Tegeeza abaana ba Isiraeri bakuleetere ebiweebwayo byange, nga buli muntu bw'anaakubirizibwa mu mutima gwe.- 3Bino bye biweebwayo bye balibaleetera: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo; 4n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 5n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 6amafuta g'ettaala, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 7amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.- 8Era bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.- 9Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.”

10“Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.- 11Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola. 12Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri. 13Era olikola emisituliro egy'omuti ogwa sita, oligibikkako zaabu. 14Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo. 15Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko; tegiggibwangamu.- 16Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.- 17Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi; emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.- 18Era olikola bakerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira. 19Era kola kerubi omu ku nsonda emu, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda endala; bakerubi n'entebe ey'okusaasira birikolwa okuva mu zaabu emu. 20Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga batunuliganye amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.- 21Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku ssanduuko; era mu ssanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa. 22Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakulagiranga eri abaana ba Isiraeri.-

23“Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita; emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.- 24Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola. 25Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 26Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 27Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza. 28Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo. 29Era olikola essowaani zaayo, n'ebbakuli zaayo, eby'okuteekamu eby'akaloosa; n'ensuwa zaayo, nensumbi zaayo eby'okuttuluza. Olibikola mu zaabu ennungi. 30Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.-

31“Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi; ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo.- 32Kiriba n'amatabi mukaaga ku njuyi zaakyo: amatabi asatu ku buli ludda. 33Buli limu ku matabi omukaaga liribeerako ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, omutwe n'ekimuli; 34ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo; 35n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. 36Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo; kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.- 37Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu; era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo. 38Ne nnamagalo waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi. 39Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna. 40Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index