Search form

Okuva 27

1“Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana; n'obugulumivu bulibeera emikono esatu.- 2Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo. 3Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'amakato gaakwo, n'emmumbiro zaakyo; ebintu byakyo byonna olibikola nga bya bikomo. 4Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya. 5Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 6Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo. 7N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula. 8Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balikikola.”

9“Era olikola oluggya lw'eweema; eby'oluuyi olw'obukiikaddyo mu bukiikaddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikumi (100) obuwanvu oluuyi olumu; 10n'empagi zaalwo ziribeera amakumi abiri (20), n'ebinnya byazo amakumi abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 11Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi (100) obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri (20), n'ebinnya byazo amakumi abiri (20), eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 12Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano (50); empagi zaabyo kkumi (10), n'ebinnya byazo kkumi (10). 13N'obugazi bw'oluggya okuva ku mulyango okudda ebuvanjuba, bulibeera emikono amakumi ataano (50). 14Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano (15) empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 15Era eby'oluuyi olw'okubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano (15); empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 16Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri (20), olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza; empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina. 17Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo. 18Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi (100), n'obugazi amakumi ataano (50) wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo. 19Ebintu byonna eby'omu weema, mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.”

20“Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeyituuni agakubibwa ag'ettaala okwasa ettaala bulijjo. 21Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama; linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna mu baana ba Isiraeri.”-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index