30Era oliteeka mu ky'omukifuba ekiraga okusalawo kwa Mukama, Ulimu ne Sumimu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama; ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.”