Search form

Okuva 31

1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda:- 3era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola, 4okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo, 5ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, okwola emiti, n'okukola buli ngeri ya mulimu. 6Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne bonna abalina obusobozi ntadde amagezi mu mitima gyabwe, bakole byonna bye nkulagidde;- 7eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema; 8n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako; 9n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 10n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona; 11n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'ebyakaloosa akalungi ebya watukuvu; nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.”

12Mukama n'agamba Musa nti, 13“Era buulira abaana ba Isiraeri nti, ‘Mazima mukwatanga Ssabbiiti zange; kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.- 14Kyemunaavanga mukwata Ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli; buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa; kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 15Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo Ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama; buli anaakoleranga emirimu gyonna ku Ssabbiiti, talemanga kuttibwa.- 16Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata Ssabbiiti, okwekuumanga Ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. 17Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna; kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.’ ”-

Musa afuna ebipande eby'Amateeka (31:18)

18Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index