Search form

Olubereberye 16

Salaayi ne Agali

1Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, teyamuzaalira baana. Naye yalina omuzaana Omumisiri, erinnya lye Agali; 2Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Laba nno, Mukama nze anziyizza okuzaala; nkwegayiridde, twala omuzaana wange ono, oba oli awo alinzaalira abaana.” Ibulaamu n'akkiriza Salaayi by'amugambye.- 3Ibulaamu yali yakamala emyaka kkumi ng'atudde mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we, n'amuwa Agali, omuzaana we Omumisiri, okuba mukazi we. 4Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n'aba olubuto. Awo Agali bwe yalaba ng'ali lubuto n'anyooma mugole we.- 5Salaayi n'agamba Ibulaamu nti, “Mukama asalewo ani mutuufu wakati wo nange, kubanga nze nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo, naye bw'alabye ng'ali lubuto, n'annyooma, naye naawe tofuddeyo kumunenya.”- 6Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti, “Laba, Agali muzaana wo, ggw'omulinako obuyinza, mukole nga bw'oyagala.” Salaayi n'alyoka akambuwalira nnyo Agali, Agali n'amuddukako. 7Awo malayika wa Mukama n'asisinkana Agali mu ddungu, awali oluzzi, mu kkubo eriraga e Ssuuli. 8N'amugamba nti, “Agali, omuzaana wa Salaayi, ova wa, era ogenda wa?” Agali n'amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.” 9Naye malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo, omugondere.” 10Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ndikuwa ezzadde lingi nnyo, nga terisoboka na kubalika olw'obungi.”- 11Era malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Laba, oli lubuto, olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri,+ kubanga Mukama awulidde okubonyaabonyezebwa kwo.- 12Era aliba ng'ensolo ey'omu nsiko etefugika. Anaalwanaga na buli muntu, era buli muntu anaalwananga naye, era aneeyawulanga ku baganda be.”- 13Agali n'ayita Mukama eyayogera naye erinnya nti, “Ggwe Katonda alaba.”+ Kubanga yeebuuza nti, “Ddala ndabye Katonda ne nsigala nga ndi mulamu?” 14Oluzzi Olwo oluli wakati wa Kadesi ne Beredi kye lwava luyitibwa erinnya Beerirakairo.+ 15Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana oyo erinnya Isimaeri- 16Ibulaamu we yazaalira Isimaeri, yali awezezza emyaka kinaana mu mukaaga (86).

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index