Search form

Olubereberye 29

Yakobo atuuka mu maka ga kojjaawe Labbaani

1Yakobo n'alyoka agenda ng'atambula, n'ajja mu nsi ey'abantu ab'ebuvanjuba.- 2N'atunula, era, laba, oluzzi mu nnimiro era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi; kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo; n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene. 3N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo; ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku luzzi, ne banywesa endiga, era ne bazza ejjinja ku luzzi, mu kifo kyalyo. 4Yakobo n'abagamba nti, “Baganda bange, muva wa?” Ne boogera nti, “Tuva Kalani.”- 5N'ababuuza nti, “Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.” 6N'ababuuza nti, “Mulamu?” Ne bamuddamu nti, “Mulamu; era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga.” 7N'ayogera nti, “Laba, kati ttuntu so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa; munywese endiga, mugende muziriise.” 8Ne boogera nti, “Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa ku luzzi, tulyoke tunywese endiga.” 9Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga.- 10Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n'endiga za Labbaani, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku luzzi n'anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina.- 11Yakobo n'anywegera Laakeeri n'akaaba mu ddoboozi eddene ennyo. 12Yakobo n'abuulira Laakeeri nti ndi wa luganda ne kitaawo, ndi mwana wa Lebbeeka; Laakeeri n'adduka n'abuulira kitaawe.- 13Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina nga yazze, n'adduka najja okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. Yakobo n'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna.- 14Labbaani n'amugamba nti, “Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange.” Yakobo n'abeera yo okumala omwezi gumu.-

Yakobo aweereza Labbaani olw'okuwasa Laakeeri ne Leeya

15Labbaani n'agamba Yakobo nti, “Olw'okuba ng'oli muganda wange ky'onoovanga ompererezanga obwereere? Mbuulira, empeera yo eneebanga ki?” 16Era Labbaani yalina abawala babiri; erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri. 17Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge nga gasanyusa. 18Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti, “Nja kukuweereza okumala emyaka musanvu ompe Laakeeri muwala wo omuto.”- 19Labbaani n'ayogera nti, “Waakiri muwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala.” 20Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gimulabikira ng'ennaku entono olw'okwagala kwe yamwagala.-

21Yakobo n'agamba Labbaani nti, “Mpa omukazi wange muwase kubanga ennaku ze twalagaana ziweddeyo.” 22Labbaani n'akuŋŋaanya abantu bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga.- 23Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; ne yeegatta naye. 24Labbaani n'awaayo omuzaana we Zirupa, eri muwala we Leeya okuba omuzaana we 25Awo bwe bwakya enkya, Yakobo n'alaba nga ye Leeya; n'agamba Labbaani nti, “Kiki kino ky'onkoze? Ssaakuweereza lwa Laakeeri? Kale kiki ekikunnimbizza?” 26Labbaani n'addamu nti, “Ssi mpisa yaffe mu nsi yaffe eno, okufumbiza omuto okusooka omukulu. 27Sooka omaleko ennaku omusanvu ez'obugole ne Leeya, tulyoke tukuwe n'omulala, olw'okuweereza kw'ogenda okumpeereza nate okumala emyaka emirala musanvu.”- 28Yakobo n'akkiriza, era ennaku omusanvu bwe zaggwaako, Labbaani n'amuwa muwala we Laakeeri okuba mukazi we. 29Labbaani n'awaayo ne Bira omuzaana we, okubeera omuzaana wa Laakeeri. 30Yakobo ne yeegatta ne Laakeeri, era n'amwagala nnyo okusinga Leeya, n'aweereza Labbaani nate, emyaka emirala musanvu.-

Abaana ba Yakobo

31Mukama bwe yalaba nga Leeya yakyayibwa, n'asumulula olubuto lwe; naye Laakeeri yali mugumba. 32Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Lewubeeni;+ kubanga yayogera nti, “Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakano baze ananjagala.”- 33N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa, era ky'avudde ampa n'omwana ono.” N'amutuuma erinnya lye Simyoni.+ 34N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu.” N'amutuuma erinnya lye Leevi.+ - 35N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti, “Omulundi guno nnaamutendereza Mukama;” kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda;+ n'alekera awo okuzaala.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index