Search form

Olubereberye 35

1Katonda n'agamba Yakobo nti, “Golokoka, oyambuke e Beseri, gye nnakulabikira ng'odduka mugandawo Esawu, otuule eyo onzimbire ekyoto.”- 2Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, mukyuse ebyambalo byammwe, mwambale ebitukula;- 3tusituke twambuke e Beseri; nange ndizimbira eyo Katonda ekyoto, eyannyamba, mu biseera ebizibu, era eyabanga nange mu kkubo lye natambuliramu.”- 4Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina n'empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n'abiziika wansi w'omuti omwera, ogwali mu Sekemu.- 5Ne batambula, entiisa ennene n'ekwata ab'omu bibuga ebibeetoolodde, ne batabawondera.- 6Awo Yakobo n'abantu bonna abaali naye, ne batuuka e Luzzi, ye Beseri ekiri mu nsi ya Kanani. 7- N'azimba eyo ekyoto, ekifo ekyo n'akituuma Erubeseri,+ kubanga eyo Katonda gye yamulabikira bwe yali ng'adduka Esawu muganda we. 8Debola, omulezi wa Lebbeeka n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera; ne bagutuuma erinnya Alooninakusi.+ -

9Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n'amuwa omukisa.- 10Katonda n'amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; naye okuva kati tokyayitibwa Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo.” N'amutuuma erinnya Isiraeri.- 11Katonda n'amugamba nti, “Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; oyale era weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo;- 12n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo.” 13Katonda n'ava awali Yakobo,- 14Yakobo n'asimba empagi ey'amayinja mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, n'agifukako ekiweebwayo eky'okunywa n'amafuta.- 15Yakobo n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri.-

Okufa kwa Laakeeri

16Awo Yakobo n'ab'omu nnyumba ye ne bava e Beseri ne batambula; baali babulako katono okutuuka mu Efulasi; ebiseera bya Laakeeri eby'okuzaala ne bituuka, n'alumwa nnyo. 17Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti, “Totya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala.”- 18Awo olwatuuka, bwe yali anaatera okufa, n'atuuma omwana we erinnya Benoni,+ naye kitaawe n'amutuuma Benyamini.+ 19Laakeeri n'afa, ne bamuziika ku mabbali g'ekkubo erigenda e Efulasi, ye Besirekemu.- 20Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge; eyo ye mpagi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero.- 21Isiraeri ne yeyongerayo mu lugendo lwe, n'asimba eweema ye ng'ayisizza omunaala gwa Ederi.

Batabani ba Yakobo

(1 Byom 2:1-2)

22Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe; Isiraeri n'akimanya.-

Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri. 23Abaana ba Leeya be bano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, Simyoni, Leevi, Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni.- 24Abaana ba Laakeeri: Yusufu ne Benyamini. 25Abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri: Ddaani ne Nafutaali. 26Abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya: Gaadi ne Aseri. Abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa e Padanalaamu.

Okufa kwa Isaaka

27Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe e Mamule, mu Kiriasualaba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.- 28Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana (180). 29Isaaka n'afa nga akaddiye nnyo, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. Abaana be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index