Search form

Olubereberye 49

Okulaama kwa Yakobo

1Yakobo n'ayita batabani be, n'ayogera nti, “Mukuŋŋaane mbategeeze ebiribatuukako gye bujja.

2“Mukuŋŋaane, muwulire, mmwe

batabani ba Yakobo;

Muwulire Isiraeri kitammwe.

3Lewubeeni, ggwe mwana wange omubereberye,

ow'obuvubuka bwange,

era amaanyi gange mwe gaasookera;

Asinga amalala n'okwekulumbaza-

4Atafugika ng'amazzi agawaguzza;

toliba mukulu;

Kubanga walinnya ku kitanda

kya kitaawo;

N'okigwagwawaza,

Weebaka mu buliri bwange.-

5Simyoni ne Leevi ba luganda;

Ebitala byabwe bya kulwanyisa

bya maanyi.-

6Ggwe emmeeme yange,

tojjanga mu lukiiko lwabwe;

Ggwe ekitiibwa kyange,

teweegattanga n'ekibiina kyabwe;

Kubanga olw'obusungu bwabwe

batta omusajja,

N'olw'eddalu lyabwe baatema

ente olunywa.-

7Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;

N'obukambwe bwabwe,

kubanga bwa ttima;

Ndibaawula mu Yakobo,

Ndibasaasaanya mu Isiraeri.-

8Yuda, ggwe baganda bo

banaakutenderezanga;

Omukono gwo gunaabanga ku

bulago bw'abalabe bo;

Abaana bakitaawo banaakuvuunamiranga.-

9Yuda, olinga omwana gw'empologoma;

Okomyewo mwana wange, ng'ova okuyigga.

Yakutama, yabwama ng'empologoma ensajja,

Oba ng'empologoma enkazi;

ani anaagisaggula?-

10Omuggo ogw'obwakabaka teguveenga mu Yuda,

Era bazzukulu be banaafuganga

Okutuusa Siiro lw'alijja,

Era oyo abantu gwe banaawuliranga.-

11Alisiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu,

N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi;

Ayoza ebyambalo bye mu mwenge omumyufu ogw'ezzabbibu;

12Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge,

N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata.-

13Zebbulooni anaatuulanga ku lubalama lw'ennyanja;

Anaabanga omwalo ogw'amaato;

N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni.-

14Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi,

Egalamira awali ebisibo by'endiga:-

15N'alaba okuwummula nga kulungi,

N'ensi nga ya kwesiima;

N'akutamya ekibegabega kye okwetikka,

N'afuuka omuddu akakibwa okukola emirimu.

16Ddaani, ng'ekimu ku bika bya Isiraeri,

anaasaliranga abantu be emisango,-

17Ddaani anaabanga omusota mu luguudo,

Embalasaasa mu kkubo,

Eruma embalaasi ebinuulo,

agyebagadde n'awanukako n'agwa.-

18Nindiridde obulokozi bwo,

ayi Mukama.-

19Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza;

Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.-

20Ettaka lya Aseri linaabanga ggimu eribaza emmere.

Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka.-

21Nafutaali ye mpeewo etaayaaya

ezaala abaana bayo abalungi.-

22Yusufu gwe muti ogubala ennyo.

Oguli okumpi n'ensulo y'amazzi;

Amatabi gaagwo gaagaagalidde waggulu w'ekisenge.-

23Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo,

Baamulasa, baamuyigganya;-

24Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi,

N'emikono gye ne giweebwa amaanyi,

agava eri ow'Obuyinza

Katonda wa Yakobo

Omusumba era olwazi Isiraeri.-

25Ye Katonda wa kitaawo,

anaakubeeranga,

Ye Muyinza w'ebintu byonna,

anaakuwanga omukisa,

Omukisa oguva mu ggulu waggulu,

N'omukisa oguva wansi mu nnyanja,

N'omukisa ogw'okuzaala n'okuyonsa-

26Omukisa gwa kitaawo

Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajjange

Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero

ey'ensozi ezitaliggwaawo;

Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu

Ne ku bwenyi bw'oyo eyayawulibwa okuva ku baganda be.-

27Benyamini gwe musege ogunyaga;

Enkya anaalyanga omuyiggo,

Era akawungeezi anaagabanga omunyago.”-

28Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri (12); n'ebigambo kitaabwe bye yabagamba ng'asabira buli omu kubo omukisa ogwamusaanira.

Okufa n'okuziikibwa kwa Yakobo

29Awo Yakobo n'akuutira abaana be, n'abagamba nti, “Bwe ndifa muntwalanga ku butaka, ne mu nziika awali bajjajjange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,- 30eri e Makupeera, mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro, okuba obutaka obw'okuziikangamu.- 31Eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya.- 32Ennimiro n'empuku egirimu, byagulibwa ku baana ba Keesi.” 33Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'agalamira ku kitanda kye, n'assa omukka gwe ogw'enkomerero. N'atwalibwa eri abantu be.-

Revised Luganda Bible

© Bible Society of Uganda

More Info | Version Index